Amawulire

Abakulembeze e Mateete beeralikiridde olwámasanyalaze agabbibbwa

Abakulembeze e Mateete beeralikiridde olwámasanyalaze agabbibbwa

Ivan Ssenabulya

April 17th, 2023

No comments

Bya Prossy Kisakye,

Obubbi bw’amasanyalaze bweraliikirizza abakulembeze e Mateete mu Ssaza lye Mawogola mu disitulikiti eye Ssembabule.

Kino kiddiridde okukizuula nti abantu ebitundu 70 ku 100 mu kitundu kino amassanyalaze gebakozesa babbamabbe nga abamu bagayisa mu ttaka ekiviiriddeko abantu banji okulusulaamu akaba.

Ekisinga okwelaliiriza kwekuba nti amassanyalaze gano bagaloba ne ku ddwaliro lya Mateete health center III ekintu ekyobulabe eri abasawo n’abalwadde.

Okugonjoola embeera eno bassentebe b’amaggombolola na bebyalo bayise olukiiko okutema empenda butya bwebayinza okumalawo obubbi bw’amasanyalaze .

Olukiiko luno lwetabiddwamu abakungu okuva mu kitongole Kya UMEME nga bakulembedwamu Richard Mawugi, ne bambega ba poliisi e Mateete nga lutudde ku kitebe ky’eggombolola ya Mateete.

Mu lukiiko luno abatuuze nga bakulembeddwamu Ssentebe w’eggombolola ya Mitete Baker Byaayi, batadde aba UMEME ku nninga babannyonyole ensonga ebamisa amassanyalaze nga ate ebisanyizo byonna ebyetagisa babirina.

Balumiriza aba UMEME okubafuula olusuku nga benyini bebabayunga ku massayalaze amabbe ate ne babefulira okukakana nga babajjeko obutitimbe bw’ensimbi.

Bagamba nti kino kyekimu ku biwalirizza abantu mu kitundu kino okwenyigira mu bubbi bw’amassanyalaze ne basaba ab’ekitongole Kya UMEME okubaako ne kyebakola ku nsonga eno nti kuba ekitali ekyo abantu babwe batuuse okubafako bagwewo.