Amawulire

Abakulembeze e Lango bawagidde Museveni mu kulwanyisa ebisiyaga

Abakulembeze e Lango bawagidde Museveni mu kulwanyisa ebisiyaga

Ivan Ssenabulya

March 6th, 2023

No comments

BILL OKETCH, 

Abakulembeze b’ennono mu bitundu bye Lango bavuddeyo nebawagira enteekateeka za Gavumenti ez’okulwanyisa ebikorwa eby’obuli bwesiyaga, ng’ebikorwa ng’ebyo babyogeddeko nebitali bya buntu.

Micheal Okune nga y’akulira eby’obuwangwa e Lango ategeezezza nga bwebisanye okulwanyisibwa mu buli ngeri esoboka.

Mu kiwandiiko bano kyebafulumizza, Dr Moses Odongo ategeezezza nga mu nsisinkano gyebaabadde ne banne abalala bakulemera bwebakkanyizza kino bakilwanyisizeewo mu nkola yemu nga gavumenti nayo bwekikutteemu.

Bano era bakkanyizza okukolera awamu ne Gavumenti to okulwanyisa ebikorwa eby’obuli bw’enguzi n’ebikorwa eby’obukuubagano mu maka.

Bino bijidde mu kiseera nga Gavumenti sabiiti ewedde yatadde mu kyapa ebbago elilwanyisa ebisiyaga nga lino likangavvura omuntu yenna anakwatibwanko nga alidde ekisiyaga.