Amawulire

Abakulembeze e Busoga batonzeewo ekibiina kyenkulakulana

Ivan Ssenabulya

September 26th, 2021

No comments

Bya Abubaker Kirunda

Abakulembeze mu ttunduttundu lya Busoga baliko olukiiko lwebatonzeewo olugenda okutembeeta emirimu gyenkulakulana.

Olukiiiko luno balutuumuye ‘Busoga consotium’ nga kugenda kutulako ba ssentebbe bazi disitulikiti, ababaka ba palamenti nabakulembeze abalala mu disitulikiti 12 ezikola Busoga.

Ronald Sanya nga ye ssentebbe wa disitulikiti ye Namayingo yalondedwa nga ssentebbe, agenda kumyukibwa ssentebbe owa distulikiti ye Luuka Simon Wakazze.

Anthony Mula nga yakulira ekibiina kyonna awamu, agambye nti bagenda kusaka polojekiti ezigenda okuleeta enkulakulana mu kitundu kino.

Mu birala byebatunuliidde agambye nti bagenda kunyweza obumu mu bantu.