Amawulire
Abakulembeze b’obusiramu bavumiridde ekitta bantu.
Bya Kato Joseph ne Ritah Kemigisa.
Muft wa uganda Sheik Shabana Ramadhan Mubajje asabye government okwanguwa okuliyirira abayisiramu bonna abazze batekebwako emisango egitali gyabwe n’okutusibako obuvune.
Okwogera bino abadde wano ku muzigiti gwa Old Kampala mu kusaala Eid eno
Ono agambye nti abasiraamu bangi bazze bakwatibwa, nebatekebwako emisango egy’obutemu, kyoka oluvanyuma kizuuse nti abatemu balala.
Ate e Kubuli Jajja w’obusiramu omulangira Kasimu Nakibinge alazze obwenyamivu olw’abantu abazze batibwa, kyoka nga police ensonga ezikwata kasoobo.
Ono agamba nti ensonga zino zaakula mpola, kakano wetuuse zisajjuse kubanga zituuse nekubannabyabufuzi.