Amawulire

Abakulembeze bakalatiddwa okufaayo okutumbula embeera zábantu mu mwaka omujja

Abakulembeze bakalatiddwa okufaayo okutumbula embeera zábantu mu mwaka omujja

Ivan Ssenabulya

December 29th, 2022

No comments

Bya Prossy Kisakye,

Kabaka wa Buganda Ronald Muwenda Mutebi 11, akubiriza abakulembeze b’ebyobufuzi okussa essira ku kusitula embeera z’abalonzi mu byenfuna mu mwaka ogujja 2023.

Bino biri mu bubaka bwe obufundikira omwaka.

agambye nti essira lisinge kuteekebwa ku nteekateeka ezigenda okuyamba okumalawo obwavu mu bannansi okusobola okutumbula enkulakulana yéggwanga.

Kabaka era asaba abakulembeze okufumiitiriza n’okubeera n’ebirowoozo okulaba nga bannansi bafuna obuweereza obulungi.

Mungeri yeemu asabye abazadde okwongera okwetanira okuweerera abaana babwe okusobola okutangaaza emikisa gyabwe egy’okubeera n’ebiseera eby’omu maaso ebitangaavu.

Ono era akubiriza abavubuka okuwagira bazadde baabwe abanafuye baleme kufuna nkomerero ya nnaku.