Amawulire

Abakulembeze babasiraamu balangiridde okwekalakaasa mu kuwakanya ebisiyaga

Abakulembeze babasiraamu balangiridde okwekalakaasa mu kuwakanya ebisiyaga

Ivan Ssenabulya

February 22nd, 2023

No comments

Bya Mike Sebalu,

Ekibiina ekigatta obusilamu e Kampala mukadde ki Uganda Moslem Supreme Council kisazeewo abasilaamu yonna gyebali mu gwanga benyigire mu kwekalakaasa okwemirembe nga balaga obutali bumativu bwabwe n’ebikorwa eby’obuli bwebisiyaga obwongera okumaamira eggwanga.

Okwawukanako n’enteekateeka eyabadde esoose okulwangilirwa bano okukumba mu kkubo, kati bano balagiddwa okukozesa emizikiti gyabwe betimbire eno ebipande ebivumilira ebikorwa ebyo okwewala okutataganya entambuza y’emilimu mu bitundu gyebabeera.

Sheikh Imran Abdunoor Ssali nga yemuwandiisi w’eddini e Kampala Mukadde agamba nti bino byonna byakubeerawo ku lunaku lwa Jumba.

UMSC era elagidde ba district Kadhi bonna gyebali, okukozesa Khutuba, emikutu gy’emupiziganya emilala omuli radio ne TV okuvumilira ebikorwa ebifaanananko ng’ebyo ebityobola obuwangwa, eddiini n’ennono.