Amawulire

Abakulembeze ba bakyala basabiddwa okuyambako bannabwe

Abakulembeze ba bakyala basabiddwa okuyambako bannabwe

Ivan Ssenabulya

March 6th, 2023

No comments

Bya Prossy Kisakye,

Abakulembeze b’abakyala mu ggwanga basabiddwa okufaayo okusomesa abakyala bannabwe ku mutendera ogwa wansi ku nteekateeka za gavumenti ezasindikibwa mu bitundu gyebabeera mwebasobola okuyita okwekulakulanya.

Olusaba kuno kujidde mu kiseera nga sabiiti eno ku lwokusatu Uganda yakwegatta ku nsi yonna okukuza olunaku lw’abakyaala ng’emikolo emikulu gigenda kuyindira mu district eye Kiruhuura.

Mu mwaka gwa 2015, Government ng’eyita mu Ministry y’oksutila embeera z’abantu yatandikawo enkola ey’okusitula embeera z’abakyala n’ekigendererwa eky’okusitula embeera zaabwe.

Mu buufu bwebumu, Government era yateeka ku bbali ebitundu ebikola ensimbi ebitundu 30%  mu Parish Development Model anga za bakyaala, wabula okuzinziira ku Minister Betty Amongi, abakyaala bangi tebamanyi nteekateeka ezo ekilese bangi nga bali mabega w’enkulakulala.

Agamba nti n’abo abamanyi enteekateeka zino, tebalina bukugu bwakukozesaamu nsimbi ezo okusobola okuziganyurwamu.