Amawulire

Abakukuta okugenda e bunayira bakyeyongera.

Ivan Ssenabulya

July 2nd, 2018

No comments

Bya Samuel Ssebuliba.

Polisi   etegeezeza nga abantu abakukuta okugenda ebunayira okukola bwebakyali abangi newankubadde polisi ezze ebalabula  ku bulabe obuli mu kino .

Omwaka oguwedde wegwatuukira mu masekati nga emisango 48  egy’okugenda e bunayira mungeri emenya amateeka gyegyakafunika, era nga abantu 121 bebaakwatibwa.

Twogedeko ne Moses Binoga  nga ono yakulira akakiiko akalwanyisa abantu abatwalibwa e bunayira mungeri emenya amateeka  , nagamba nti situgaanye bagezezaako okuggala company ezikola emirimo gino, abantu bakyekubira omusimu okusisinkana, songa abalala bakozesa ebiwandiiko ebigingirire okutuuka e bunayira.

Wabula ono agamba nti nabo tebatudde bagezaako okuvaayo n’enkola ezisingawo eziyinza okutangira omuze guno.