Amawulire

Abakugu mu byémitima bawabudde Gavt

Abakugu mu byémitima bawabudde Gavt

Ivan Ssenabulya

September 26th, 2022

No comments

Bya Mike Sebalu,

Abakugu mu ndwadde z’emitima bawadde Government amagezi okuteeka essira ku ky’abantu okukola duyiro ng’erimu ku makubo amangu oganayitwamu okutamgira okubalukawo kw’ebilwadde by’e Mitima ebyongedde ennyo mu banna Uganda n’ensi yonna okutwalira awamu.

Okusinziira ku bakugu, ebilwadde by’emitima bivunannyizibwa ku bantu abakola ebitundu 9 ku 100 abafa okwetoloola eggwanga.

Agamba ate bino bwebyegattibwako ebyo ebilala ebyefaananyiriza olwo omuwendo gweyongera kyenkana kusinga abo abafa omsujja gw’ensiri buli mwaka.

Okusinziira ku Dr John Omogin akulira Uganda Heart Institute, gavumenti z’ebitundu nazo kekadde okusimbira ekkuli amasomero agatandikawo nga tegalina bifo bayizi webanakolera duyiro ate nga n’abazimba amakubo akadde katuuse buli luguudo olukolebwa luteekebweko abantu abebigere webasobola okutambulira oba okuvugira akagaali.

Dr. Omogin okwogera bino nga eggwanga lyetegekera okwegatta ku nsi yonna okukuza olunaku lw’emitima mu nsi yonna olukwatibwa buli nga 29/09.