Amawulire

Abakugu mu bya technologia balina essuubi

Abakugu mu bya technologia balina essuubi

Ivan Ssenabulya

August 14th, 2023

No comments

Bya Ndaye Moses,

Abakugu mu by’atechnologia balina essuubi nti enkulakulana ezze mu kisaawe kye byatechnologia yakwongera okuyambako Uganda okutuuka ku ddaala lya mawanga agali yadde yaddeko we tunaatuukira mu mwaka gwa 2040

Akulira ekibiina kya MasterCard foundation for East Africa Shahryar Ali asabye gavumenti okukola enkola ezigenda okuyamba okutumbula enkulaakulana ya kkampuni eziri mu byamasimu mu ggwanga, nga mu nkola eno zigenda kukozesebwa okutuusa empeereza ya digito eri abantu.

Agamba nti mu kiseera kino kkampuni za Fintech 160 ezikola emirimu omuli okutambuza ensimbi zikoze omulimu munene mu nsonga z’okukyusa eby’ensimbi mu ggwanga.

Bino abyogeredde mu lukungaana lwekibiina omwegatira zi-banka mu ggwanga ki Uganda Bankers Association olw’omulundi ogw’omukaaga olutegekebwa buli mwaka .

Kyokka omumyuka wa Gavana wa Banka ya Uganda enkulu, Michael Atingi-Ego agamba nti technologia ali mu kampuni za Fintech akyusiza ebyenfuna bya uganda yadde nga biyita mu kusomozebwa.