Amawulire

Abakozi mu matendekero aga waggulu basabiddwa okukakana

Ivan Ssenabulya

June 19th, 2018

No comments

Bya Damalie Mukhaye

File Photo :Abayizi be makerere

Ministry eyebyenjigiriza nemizannyo esabye abakozi mu matendekero ga gavumento gonna aga waggulu bayimirize akediimo kaabwe, kubanga gavumenti yakukola ku nyongeza yemisaala gyabwe.

Bino webijidde nagabakozi abasomesa nabatali basomesa mu matendekero 9 akakwungeezi akayise bakanyizza okussa wansi ebikola okutuusa ngobuwumbi 138 butekeddwa mu mbalirira yomwaka gwebyensimbi ogugenda okutandika.

Bwabadde ayogerako naffe omuwandiisi owenkalakalira ministry yebyenjigiriza Alex Kakooza agambye nti bano bagwana babeere bakakamu.

Ono ategezeza nti gavumenti ekola kyonna ekisoboka okutukiriza obweyamu bwayo okubongezanga nga bwekyakanyizibwako.

Yyo ministry yebyenjigiriza yawereddwa obwesedde 2 nobwumbi 800 mu mwaka gwebyensimbi ogugenda okutandika 2018/19 abasomesa kyebawakanyizza.

Bano balangiridde akediimo kaabwe mu mwezi ogujja.