Amawulire

Abakozi bé kitongole ekiramuzi basabiddwa okwanja ebyóbuggaga byabwe mu bwangu

Abakozi bé kitongole ekiramuzi basabiddwa okwanja ebyóbuggaga byabwe mu bwangu

Ivan Ssenabulya

March 1st, 2021

No comments

Bya Prossy Kisakye,

Amyuka ssabalamuzi Richard Buteera, asabye abakozi békitongole ekiramuzi okukulemberamu entekateeka eyokwanja ebyobugagga byabwe etongozedwa olunaku olwaleero.

Kino kidiridde alipoota eraga engeri ebitongole bya govt gye byetanira okugondera etteeka eryokwanja ebyobuggaga byabwe, okulaga nti abakozi be kitongole ekiramuzi tebajjumbira ntekateeka eno mu bitongole ekumi ebisooka.

Okusinzira ku amyuka ssabalamuzi Buteera, omuk weggwanga n’omumyukawe ne bassabawandiisi ba ministry bebasinga okwetanira okugondera etteeka ku kwanja ebyobuggaga ne bitundu 100%

Bano badirirwa akakiiko ka public service commission, Parliament, ne kitongole kya Petroleum Authority of Uganda kko ne birala.