Amawulire

Abakozi ba MTN babiri basindikibwa mu Kkomera lwa bubbi

Abakozi ba MTN babiri basindikibwa mu Kkomera lwa bubbi

Ivan Ssenabulya

September 6th, 2023

No comments

Bya Ruth Anderah,

Abakozi ba kampuni ya MTN Uganda babiri bagguddwako emisango ne basindikibwa ku limanda mu kkomera e Luzira nga bateeberezebwa okuba nga bafera okuyita mu byuma bikalimagezi obukadde bwensimbi 150 obwa Opportunity Bank.

Micheal Muwanika, omukugu mu by’emikono e Mityana ne Cissy Kabagenyi, omutunzi bavunaanibwa wamu ne Ronald Naumbe omukozi wa viza ne tikiti, Andrew Kawesa Yinginiya w’Emmotoka n’abalala 3.

Bano balabiseeko mu kkooti ya Kampala City Hall wansi wómulamuzi Edgar Karakire nebagaana emisango gino era basindikiddwa ku limanda okutuusa nga September 15th 2023 lwebalidda mu kkooti

Oludda oluwaabi lulumiriza nti ekibinja ky’abantu 6 n’abalala wakati wa 18th ne 19th August 2023 e Kamwokya mu Kampala Central Division nga bakozesa obulimba ne bafuna obukadde bwensimbi 150 nga bakozesa kompyuta okuva mu Opportunity Bank.