Amawulire

Abakozi ba minisitule yébyóbulamu bakuteekebwa ku Minzaani

Abakozi ba minisitule yébyóbulamu bakuteekebwa ku Minzaani

Ivan Ssenabulya

January 24th, 2023

No comments

Bya Mike Sebalu,

Ministry y’eby’obulamu etandise okulowooza ku nkola egenda okugobelerwa okuteeka ku minzaani abakozi baayo okutuukira ddala mu zi district n’ekigendererwa eky’okulaba nga bongera kunkola ey’emilimu n’obuweereza eri abantu.

Omuwandiisi Ow’enkalakkalira mu Ministry y’eby’obulamu Dr. Diana Atwiine, agamba nti olw’okuba obuweereza businga mu zi gavumenti ez’ebitundu, kikuba ennaku abaweereza ate okwekolera emilimu nga bwebaagala olw’okuba ku nkomelero y’omwezi bajja kuba befunira omusaala.

Kati Dr Atwine agamba nti oli nebwanaaba atuusiza ekiseera ekiweebwa pension kyokka nga takola, enkola eno egya kusobola okubaanika era ebifo byabwe bilonderwemu abantu abalala.

Agamba nti kino sikyakukoma ku malwaliro gokka wabula kijja kugenda ne mu bitongole ebilala ebya gavumenti, osanga kinakyusa ku kifaananyi naddala bwekituuka ku bakozi ba Ssemugayaavu.