Amawulire

Abakozi ba Kenya airways beediimye

Ali Mivule

October 13th, 2014

No comments

Kenya airways

Abakozi ba kampuni y’enyonyi eya Kenya airways batadde wansi ebikola lwamusaala mutono.

Abediimye kuliko badereeva, ssaako n’abali bakasitoma webatukira,.

Bano bagamaba basasulwa busamambiro nga bbo bannaabwe e Kenya bayoola mudidi.

Kati bano baagala basasulwe kyekimu ssaako n’ensako endala bagifune nga banaabwe e Kenya bwebakola.

Bangi ku bakozi bano baasigadde waka nga abalala bali wabweru wa ofiisi balasa luboozi awatali kufa ku bazze kusaza tiketi.

Twogeddeko n’omu ku bakiise b’ekibiina ekilwanirira eddembe ly’abakozi ekya  Amalgamated transport and general workers union Aziz Kiirya ali mu kuteeseganya n’abakulira kampuni eno ku lw’abakozi.

omusasi waffe ategezezza nga kampuni eno bwefunyeyo abantu abalala abafa ku bakasitooma nga era emirimu gitambula

 

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *