Amawulire

Abakozi ba gavumenti 4 babatidde e Karamojja

Abakozi ba gavumenti 4 babatidde e Karamojja

Ivan Ssenabulya

March 23rd, 2022

No comments

Bya Juliet Nalwooga

Ab’obuyinza mu kitundu kye Karamoja bayungudde abebyokwerinda omuli amagye ne poliisi okuzuula abakungu ba gavumenti 4, abagambibwa okuba nti battiddwa aba-Karamoja ababbi bente.

Abantu bano abana, kigambibwa nti bakugu mu byembeera yobudde, nga babadde bakolera wansi wa minisitule yamasanyalaze nobugagga obwomuttaka, nga kigambibwa baali ku mirimu mu gombolola ye Rupa mu disitulikiti ye Moroto.

Solomon Muyita, ye mwogezi wa minisitule yamasanyalaze nobugagga obwomu ttaka, anyonyodde ebyali bikwata ku bantu bano.