Amawulire

Abakozi ba Gavt bakwongezebwa omusaala mwaka gujja

Abakozi ba Gavt bakwongezebwa omusaala mwaka gujja

Ivan Ssenabulya

November 11th, 2021

No comments

Bya Damali Mukhaye,

Minisita avunanyizibwa kunsonga zábakozi ba gavt Muruli Mukasa, ategezeza nti nga gavt bwegenda okwongeza abakozi baayo okutandika nómwaka ogujja era nga bannasayansi bebagenda okutandikirako.

Kino kidiridde omwaka oguwedde olukiiko lwa baminisita okuyisa ekiteeso abakozi ba gavt bongezebwe emisaala.

Mu kwogerako ne bannamawulire mu kampala, Muruli agambye nti ekya gavt okutandikira ku bannasayansi kigenderedde kwongeza kusikiriza balala kweyongera kukuguka mu bya sayansi eggwanga lisobole okuba ne byobulamu ebinywevu nobusobozi okwetengerera

Okusinzira ku minisita abasawo abebuzibwako kati bakufunanga obukadde bwensimbi 18 ate abasawo abakugu obukadde 20

Bonna abayizi abatikiddwa mu bya sayansi ne technologia bakufunanga omusaala gwa bukadde 4 ate abatikidwa mu bwa dokita obukadde 5