Amawulire

Abakozi abasoba mu 4000 bebakaweebwa ku ssente z’obukadde

Abakozi abasoba mu 4000 bebakaweebwa ku ssente z’obukadde

Ivan Ssenabulya

March 23rd, 2022

No comments

Bya Ndhaye Moses

Ekitavvu kyabakozi, National Social Security Fund bategezezza nga bwebakasasula ssente obuwumbi 78 nobukadde 800 eri ba memba 4,417 wansi wentekateeka ya Midterm Access.

Kino kyajjira mu tteeka lyekitavvu kyabakozi eryajjiramu enongosereza, ngomukozi aweebwa ekitundu ku ssente zaterekera obukadde.

Akulira NSSF Dr Richard Byarugaba bino abitegezezza bannamwulire bwabadde anyonyola egwanga kungeri entekateeka eyokugaba ssente bwetambula.

Agambye nti abantu omutwalo 1 mu 4,690 bebasaba wabulanga 4,417 basasuddwa.

Ku bano abakozi 5,993 baasaba bayita ku miimbagano atenga 8,697 beeyanjula butereevu kuzi wofiisi zaabwe.

Abakozi ebitundu 82% baweebwa ssente wakati wobukadde 10 ku 50.