Amawulire

Abakola mu banka beekalakaasizza

Ali Mivule

December 16th, 2013

No comments

                                                                     

bank of ba

Abakozi mu Banka ya Baroda ku ttabi ekkulu bakedde kudda wansi bikola.

Ba kasitoma abakedde okujjayo n’okussaayo ensimbi kibaweddeko okusanga nga tewali abakolako.

Abakozi bano ekibajje mu mbeera kubasuubizanga misaala buli kaseera nga tekituukirira.

Bano bagamba nti waliwo endagaano gyebassaako0 emikono ne bakama baabwe mu mwaka gwa 2011 naye nga tewali kyaali kissiddwa mu nkola.

Ensonga z’abakozi bano gyebuzze bweyongera okuyitawo , ziyingiddemu ebibiina ebirwanirira eddembe ly’abakozi.

Muno mwemubadde aba NOTU abakulembeddwaamu Usher Wilson Owere  ategeezezza nga bwali omukakafu nti bijja kuggwa

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *