Amawulire

Abakola ku by’entambula batabuse

Ali Mivule

July 21st, 2014

No comments

taxi robbers

Ekibiina ekigatta abagoba ba mmotoka , ab’obugaali n’abo bonna abali mu mulimu gw’entambula y’olukale mu kibuga bawadde KCCA omwezi gumu okutereeza entambula.

Bano batuuzizza olukiiko lwaabwe ku ofiisi z’ekibiina kya COFTU mu kampala mwebalombojjedde ennaku gyebayitamu okukolera mu kibuga.

Akulira ekibiina kya COFTU nga kino kigatta bibiina bya bakozi, Sam Lyomoki agamba nti abantu bangi balemeseddwa ekibuga naddala aba taxi ne bodaboda.

YYe amyuka omwogezi w’ekibiina ekitwala abali mu byentambula bonna, Mustapha Mayambala  asabye abali mu mulimu guno gwonna okwegatta nga lwebanasobola okutuuka ku kinyusi.