Amawulire

Abakola enguudo bafunyisa abawala 1000 embuto

Abakola enguudo bafunyisa abawala 1000 embuto

Ivan Ssenabulya

September 27th, 2021

No comments

Bya Juliet Nalwooga

Minisitule yensonga z’omunda mu gwanga, balabudde abakulira kamunizi ezikola enguudo bakome ku bakozi baabwe, abasusse okwegadanga nabaana n’okubatikka embuto.

Okulabula kuno kugenda eri abakola enguudo mu disitulikiti ye Pallisa, Soroti ne Busia oluvanyuma lwabakola enguudo okutikka abaana abawerako embuto.

Agnes Igoye amyuka akulira National Prevention of Trafficking of Persons ekitongole ekirwanyisa okukukusa abantu wansi wa minisitule yensonga zomunda mu gwanga, agambye nti mu disistulikiti ye Soroti mwokka, abawala 1000 bebafuna embuto.

Abaana bano, babazuliira mu malwaliro gyebanywera eddagala, ngabasinga bagamba nti abasajja abakola enguudo bebafunyisa embuto.

Kati Igoye asabye abakola enguudo baddeyo ku byalo, batwale obuvunanyizibwa balabirire abawala bebatikka embuto, bwebaba babusabuusa bakebeze ndaga buttoned.

okusinziira ku kitongole kya UNRA mu kitundu kino, mubaddemu polojekiti zokukola enguudo okuli oluva e Tirinyi-Pallisa-Kumi, Pallisa-Kamonkoli, Kigumba-Bulima wabulanga ezisnga zawedde.