Amawulire

Abakinjaaji balumbye kkooti

Ali Mivule

February 26th, 2014

No comments

Basajja in court

Poliisi ekyayiriddwa okwetolola oluguudo Kafu e Nakasero oluvanyuma lwabakinjaji abasoba mu 500 okuva mu lufula yoku Portbell okuzingako kooti enkulu ekola ku byettaka.

Bano bazze kuwulira musango gwawabwa naggaga  Hassan Basajjabalaba nga ayagala okwediza ettaka okutula lufula eno.

Ekibinka kino nga kikulembeddwamu ssentebe  Abbey Mugumba bakalambidde nti bebalina obwananyizi ku lufula eno nga era teri gyebalaga.

Omulamuzi Andrew Bashija akyakandaliriza okusala omusango guno oluvanyuma lwa banamateeka ab’oludda oluwaabi okusabayo akadde okwongera okwekenenya omusango guno.