Amawulire

Abakazi n’abavubuka beb’okusinga okuganyulwa mu Parish Model.

Abakazi n’abavubuka beb’okusinga okuganyulwa mu Parish Model.

Ivan Ssenabulya

February 23rd, 2022

No comments

Bya Musasi Waffe

Abakazi nabavubuka bebalidde empanga, bebamu ku bgenda okutwal ekinene ku ssente ezokwekulakulanya ku miruka wansi wentekateeka ya Parish Development Model.

Minisita owa gavumenti ezebitundu Raphael Magyezi agambye nti abaddeko bebasajja atenga mu bibalo, era abakadde nabaliko obulemu bebagoberera buli kibinja ku 10%.

Gavumenti eri mu ketalo, ku Lowmukaaga luno omukulembeze wegwanga Yoweri K. Museveni agenda kusinziira mu disitulikiti ye Kibuku mu Buvanjuba bwegwanga okutongoza entekateeka eno.

Okusinziira ku Magyezi, abakazi nabavubuka buli kibinja kigenda kutwala 30%.

Abasajja babalambikidde ssente 20% nabalala.

Agambye nti abakazi babatedde ku mwanjo kubanga bakozi ate babadde balekebwa bbali mu ntekateeka zenkulakulana nnyingi, nga bebabadde bafuna ekitono.