Amawulire

Abakattibwa e Masaka baweze 27

Abakattibwa e Masaka baweze 27

Ivan Ssenabulya

August 30th, 2021

No comments

Bya Gertrude Mutyaba ne Juliet Nalwooga

Abatemu abebijambiya mu disitulikiti ye Masaka, Lwengo, Bukomansibo ne Lyantonde kati batuuse mu disitulikiti ye Rakai ne Kyotera.

Abantu babairi bebattiddwa, okubadde Silver Ssekalala omutuuze ku kyalo Kijjumba e Rakai ne Sulaight Ssekanjako owe Kololo mu tawuni kanso ye Mutukula e Kyotera.

Ssekalala yatiddwa mu kiro kya Sunday atenga Ssekanjako baamusse mu kawungeezi Kolwomukaaga.

Ssekalaala yafiriddewo mbulaga songa Ssekanjako yafiridde mu ddwaliro lye Kalisizo, gyebabadde bamuddusizza okufuna obujanjabi.

Mungeri yeemu poliisi e Lwengo ne Masaka, eriko okunonyereza kweriko ku bantu 2 abatiddwa era mu gandaalo erya Sabiiti.

Omwogezi wa poliisi mu maserengeta ga Uganda, Mohamed Nsubuga agambye nti abatiddwa kuliko Henry Kiremba owemyaka 81 ne Maria Nakato owemyaka 80.

Kati omugatte abantu 27 bebakatemulwa mu mbeera eno, mu kitundu kyobwagagavu bwe Masaka, mu bbanga eryomwezi gumu.

Ate omubaka omukyala owa disitulikiti ye Lwengo, Cissy Namujju akunze abazadde okuddamu okugoberera ennono z’okukuza abaana baabwe, agambye nti kyekijja okuyamba okuzza empisa mu bantu.

Namujju asinzidde ku gombolola ye Kkingo, bwabadde asisinkanye ba ssentebe b’ebyalo ebikola egombolola oluvannyuma lw’abatuuze banaabwe okuttibwa mu ntiisa.

Omubaka Namujju agambye nti abazadde tebakyayagala kukuza baana mu ddiini nampisa, nebalyoka bakuz abantu abakyamu abegumbulidde okuttanganga banaabwe.

Wano wasinzidde naakwasa abakulembeze mu disitulikiti obukadde bubiri bazeyambise okugula tooki ez’okubayambako okukuuma ebyalo byabwe.

Ssentebe w’egombolola ye Kkingo Aloysius Kibira Muwonge agambye nti abantu abamy batta banaabwe, lwampalana ku byalo.

Mungeri yeemu, akulembera ekibiina ekivuganya gavumenti, National Unity Platform, Robert Kyagulanyi Ssentamu, amanyiddwa nga Bobi Wine naye akunze abantu mu bitundu bye Masaka okwongera okubeera obulindaala, okugezaako okwekuuma.

Bino Kyagulanyi, abitadde mu kiwandiiko bwabadde ayogera ku butemu buno.

Agambye nti gavumenti nabali mu buyinza balabika ngabalemereddwa, okukuuma abantu nebyabwe nokukomya obutemu buno.