Amawulire

Abakadde tebawereddwa ssente okumala emyezi 6

Abakadde tebawereddwa ssente okumala emyezi 6

Ivan Ssenabulya

October 3rd, 2021

No comments

Bya Prosy Kisakye

Ababaka ba palamenti basabye gavumenti esasule abakadde ensimbi zaabwe, ezemyezi 6 zebadde tebawa.

Gavumenti yatandika ku ntekateeka ya Social Assistance Grants for Empowerment (SAGE) ngabakadde bawebwayo akasente buli mwezi okubayambako.

Omubaka omukayala owa disitulikiti ye Kyegegwa Flavia Kabahenda agambye nti emyezi giweze 6 ngabakadde tebaweebwa ssente zino.

Ono era ayagala abalina okufuna ssente, emyaka gikendeere okuva ku 80 okudda ku 75.

Yye omubaka we Bugahya nga ye Pius Wakabi ayagala nabasajja okuva ku myaka 35 okudda ku 60 bayabikweko mu byenfuna kubanga bayita mu bingi.

Agambye nti ebizbu byebyenfuna byebivddeko bangi okuwakula endwadde mu mibiri gyabwe nezibaluma okutuuka mu bukadde.

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *