Amawulire

Abajjulirwa ku gwóbubbi kkooti ebongedde ku kibonerezo

Abajjulirwa ku gwóbubbi kkooti ebongedde ku kibonerezo

Ivan Ssenabulya

December 7th, 2023

No comments

Bya Ruth Anderah,

Abasajja 3 kkooti enkulu ey’eMpigi beyasingisa emisango okuli ogw’obunyazi wamu n’okugezaako okwekakatika ku mukazi nebasiba emyaka 10 gabamyuuse kkooti ejulirwamu bwebogendemu emyaka 4.

Abasatu bano okuli Sekito Alex, Serunjogi Juma ne Abdallah nga olumu bamuyita Jaja Lukanika nga April 2nd 2019 omulamuzi wa kkooti enkulu e Mpigi Emmanuel Baguma, yabasingisa emisango era buli omu namuwa ekibonerezo kyakukola busibe bwamyaka kumi.

Wabula bano tebaamatira nakibonerezo nebekubira enduulu mu kkooti enkulu nga bagamba ekibonerezo ekyabaweebwa kyali kinene.

Wabula abalamuzi ba kkooti ejulirwamu 3 nga bakulembeddwamu Geoffrey Kiryabwire,  Christopher Gashirabake ne Eva Luswata basazizaamu ekibonerezo ekyemyaka 10 nebabalagira basibwe enyaka 14 buli muntu.

Wabula oluvanyuma babatoreddeko ebanga lye bamala ku alimanda nga tebanabasalira misango ne babalagira bakole ekibonerezo kya myaka 10, emyezi 7 ne nakku 24.

Kigambibwa mu kiro kya September 9th 2015 mu Katale Busawula Upper Jomayi Estates, Nsangi Sub-County mu District ye Wakiso abavunanwa bayingirira amaka ga Asiimwe Alex ne mukyala we Erusa Diana nebababba sente enkalu n’ebintu omwali amassimu nga bibalirirwamu onukadde bwensimbi za Uganda obusoba mu 10.

Kkooti yakakasa kkooti nti era bano bagenzaako n’okusobya ku mukyala ono wabula baliranwa we batukira nebabatasa.