Amawulire
Abagwira bakwatiddwa lwakukusa njaga.
Bya Ritah Kemigisa.
Police wano e Ntebe ekutte abagwira babiri nga bano kigambibwa nti babade bakukusa enjaga okugitwa ebweru we gwanga.
Bwabade ayogerako ne banamawulire, ayogerera Police ye gwanga Emilian Kayima agambye nti abakwatidwa kuliko Laudato Nassimo ow’emyaka 37 munansi wa a Italy ne Antonio Manue ow’emyaka 64 munansi wa Portugal.
Kayima agamba nti Nassimo yaakwatidwa ne kilo z’enjaga 3 nga zino yabadde azikukulide mu nsawo era nga aziwala mu Belgium, songa ye munne munansi wa Portugal naye yabade n’enjaga nga agitwala mu Amsterdam.
On agamba nti bano bonna police ebalina era nga akadde kona bagenda kunyumyamu n’omulamuzi.