Amawulire

Abagwiira babayodde

Abagwiira babayodde

Ali Mivule

June 24th, 2015

No comments

File Photo: Aronda nga ayogera

File Photo: Aronda nga ayogera

Waliwo abagwira 35 abakwatiddwa lwakubeera muno mu bumenyi bw’amateeka

Ku bano 33 babadde ba china ate 2 bannansi ba Thailand nga babadde bapangisa kalina Entebbe bonna mwebabadde babeera.

Omwogezi wa minisitule ekola ku nsonga z’omunda mu ggwanga Benjamin Katana agambye nti bano emirimu gyabwe babadde bagiddukanyiza ku kompyuta nga kati bakunonyereza ku ngeri gyebayingiramu eggwanga

Katana agamba nti ebikwekweto bino byakugenda mu maaso.