Amawulire

Abagwira abalala babiri bafiiridde mu Uganda.

Ivan Ssenabulya

February 26th, 2018

No comments

Bya samuel ssebuliba.

Nga police ekyanonyereza ku bagwira bana abakafiira wano mu Uganda, nate waliwo abalala 2 abazuriddwa nga bafiiride mu bitundu eby’enjawolo.

Omu kubafudde munansi wa Germany Hans Jurgen nga ono yaffa nga 23rd February , amangu dala nga yakatusibwa e  Nsambya  okufuna  obujanjabi, songa ye Eric Tvomr  munansi wa Belgium  afudde leero  wano e Muyeganga.

Ayogerera Police ye gwanga  nga ono ye Emilian Kayima agambye nti ono enzaalwa eya Belgium kizuuse nga yesse bwesi okusinziira ku mukyalawe Joselin Mupfasoni nga ono munansi wa  Burundi, songa ye  munansi wa  German eyafiiridde e Nsambya yafudde  omutima.