Amawulire

Abagezesebwa mu busawo bayimiriza akeediimo kabwe

Abagezesebwa mu busawo bayimiriza akeediimo kabwe

Ivan Ssenabulya

November 16th, 2022

No comments

Bya Mike Sebalu, 

Abasawo abali mu kugezesebwa okuva mu butendeke obw’enjawulo wansi w’ekibiina ekibagatta ki Federation for Uganda Medical Interns balangiridde nga bwebayimirizza okwekalakasa kwokuteeka wansi ebikora kwebabaddemu okumala ennaku 9.

Okediimo kano bakatandika 06/11 okwetoloola amalwaliro ga Gavumenti mu Uganda yonna.

Bano bateeka wansi ebikola nga balaga obutali bumativu olw’obutasasurwa nsimbi zaabwe ez’ensako okumalira ddala emyeezi 2 okuli ogwa September ne October.

Bano era baali bawakanya obutali bwenkanya mu kubasasula ekitundu ku ezo abakakasibwa ku milimu zebafuna mu butendeke bwabwe obw’enjawulo wadde nga President Museveni yali yalagira dda kino kikolebwe okuviira ddala eyo mu mweezi gw’omusanvu ogwa 2022.

Okusinziira ku President wabwe Dr Musa Lumumba, mu kiseera ky’okwekalakaasa, Gavumeti esobodde okusasula bannabwe abakola ebitundu 90 ku 100 okwetoloola ebifo ebisinga obungi gyebakolera mu gwanga lyonna.

Wabula agamba nti wakyaliwo ebifo ebitannaba kuteekesa kino mu nkola okugenza nga eddwaliro lya referral e Kawempe, ely’amagye e Bombo, elye Nsambya, Masaka, Gulu referral n’awalala.

Kati Dr Lumumba agamba nti bakusigala nga boogerezeganya nebekikwata mu government nebano basasurwe ate n’okulaba ng’ebilala nabyo bikolebwako mu bannga lya naku 60 okuva kati.

Omukago guno mukungaanira bakyakayiga abali ku Busawo, abakugu b’amannyo, abatabuzi b’edaggala, ba Nurse wa ne Midwife.