Amawulire

Abagenda okuvuganya e Rukungiri bakusisinkana leero.

Ivan Ssenabulya

May 4th, 2018

No comments

Bya Ben Jumbe.

Bwetugendako e Rukungiri ewagenda okubera okulonda okw’okujuza e kifo ky’omubaka omukyala,akakiiko akakola ku byokulonda olwaleero kagenda kutegeka olukiiko mwekagenda okulambikira kakuyege bwagenda okutambula.

Olw’okano luno lulimu  abavuganya 6 , nga kuno kuliko owa  FDC  Betty Muzanira, Faith Kukundakwe  owa PPP, owa NRM  Winnie Matsiko , eyaliko minister w’abakozi ba govumenti omukyala Sezi Mbagura nabalala 2.

Twogedeko n’akola ku by’okulonda e Umar Kiyimba  n’agamba nti olukiiko luno lugenda kuyamba abagenda okuvuganya obutakuubagana nga bali mukuyigga akalulu

Okulonda kuno kwakubaawo nga 31st May 2018