Amawulire

Abagambibwa okubeera abatujju bali mu kkooti- eby’okwerinda kasiggu

Ali Mivule

January 20th, 2015

No comments

terrorists

Poliisi ekkakanya obujagalalo eyiiriddwa okwetolola kkooti enkulu mu kwetegekera okuddamu okuwulira omusango gw’abantu 12 abavunanibwa okutega bbomu ne zitta abasoba mu 70 ku Kyaddondo Rugby Grounds ne ku baala ya Ethiopian Village.

Wowulirira bino nga abavunaanwa batuuse wakati mu bukuumi obwekitalo nga era baasi mwebabadde ewerekeddwako  kabangali za poliisi 4 n’ezamakomera bbiri

Omulamuzi wa kkooti enkulu akola ku misango gy’ensi yonna Alfonse Owiny Dollo y’asuubirwa okugubeera mu mitambo.

12 bano bavunanibwa emisango 78 egy’obutemu, 11 gyakugezaako kutta, n’emirala mingi.

Kino kijidde mu kaseera nga kkooti kyejje egobe okusaba kw’abamu abava mu Kenya ne Tanzania abaali baagala okuzibwa ewaabwe bawozesebwe eyo wabula kkooti n’etegeeza nga gavumenti zaabwe bwezabawaayo nga zeyagalidde wansi w’enkolagana y’amawanga ga East Africa  kale bakuwozesebwa kuno.