Amawulire

Abagambibwa okuba abatujju bazze mu kkomera

Ali Mivule

November 7th, 2014

No comments

susupected

Abagambibwa okubeera abatujju abaakwatibwa okuva mu Kisenyi bagaaniddwa okweyimirirwa.

Bano balabiseeko mu maaso g’omulamuzi Moses Mukiibi owa kkooti enkulu ekola ku misango egikwata ku nsi yonna n’abasindika mu kkomera

Omulamuzi Mukiibi agambye nti bano emisango gyebaliko minene okubawa okweyimirirwa era nga okubayimbula kijja kuba kiteeka bannansi ku bunkenke

Agenze mu maaso n’ategeeza nti era okuyimbulwa kwa bano kuyinza okutataaganya okunonyereza kubanga tebalina na bibogerako nga newebabeera tewategerekeka

Ku bano ekkumi mwenda bannansi ba Somalia okuli n’abakyala babiri ate omu munnansi wa Kenya.

Bano nno bakwatibwa mu gwa mwenda mu bitundu by’omu Kisenyi nga kigambibwa nti baali basindikiddwa ab’akabinja ka Alshabaab okulumba Uganda.