Amawulire

Abagambibwa okuba abali bébisiyaga 4 bakwatibwa e Buikwe

Abagambibwa okuba abali bébisiyaga 4 bakwatibwa e Buikwe

Ivan Ssenabulya

August 21st, 2023

No comments

Bya Abubaker Kirunda,

Abantu bana bakuumirwa ku poliisi mu disitulikiti y’e Buikwe ku bigambibwa nti basangibwa mu bikolwa ebyóbuli bwe bisiyaga ekimenya amateeka mu ggwanga lino.

Omwogezi wa poliisi mu kitundu kya Ssezibwa, Helllen Butoto ategeezezza nti abakwatiddwa baasangibwa okuva mu bbaala ya Claud nine ku kyalo Bukaya east mu munisipaali y’e Njeru e Buikwe

Butoto agamba nti abakwate bonna bakyala era nga omukulembeze waabwe abadde akwata obutambi bw’ebisiyaga n’abuteeka ku mukutu gwa Tiktok.