Amawulire
Abagambibwa okuba ababbi bémotoka 2 bakwatibwa
Bya Prossy Kisakye,
Poliisi mu Kampala eriko abantu babiri ababadde begumbulidde omuzze ogwókubba emotoka mu bitundu bya Kampala ne miririrano betadeko obunyogoga.
Omwogezi wékitongole kya poliisi ekinonyereza ku buzzi bwemisango Charles Twiine, atubuulidde nti abakwate kuliko s Joseph Wambi ne Farouk Nsereko.
Okunonyereza okwakafunikawo kulaga nti ababiri bano ne banaabwe abalala abatanakwatibwa babadde bapangisa emotoka oluvanyuma ne baziguza abantu abalala abakwatibwa nazo nga ababbi
Twine agambye nti abakwate babadde bakenyigira mu misango egiwerako egyekuusa ku bubbi bwe motoka wabula ngókunonyereza kutandise era nga kuwedde bakusimbibwa mu mbuga za mateeka bavunanibwe