Amawulire

Abagambibwa okuba ababbi bagombeddwamu obwala e Jinja

Abagambibwa okuba ababbi bagombeddwamu obwala e Jinja

Ivan Ssenabulya

May 30th, 2023

No comments

Bya Abubaker Kirunda,

Abantu basatu bakwatiddwa ab’obuyinza ku kyalo Nakanyonyi mu Jinja city north Division nga bagambibwa okwenyigira mu kumenya amayumba.

Ssentebe wa LC1 mu kitundu kino Henry Bukenya agamba nti abakwate be bamu ku bantu 15 abekolamu ekibinja ekibba bantu b’omu kitundu.

Agamba nti abakwate baakizudde nti baapangisizza pikipiki n’emmotoka okubayamba okutuukiriza obulungi omulimu gwabwe.

Bukenya agamba nti omu ku bateeberezebwa okuba ababbi yeyambyeko poliisi okuzuula banabwe.

Bano baali bateekawo ne kifo we bakunganira mu musiri gwa kasooli nga we bava ne bagenda okunyaga ebintu bya bantu.

Ssentebe yasiimye abatuuze olw’okukkiriza obutatwala mateeka mu ngalo ne batatuusa bulabe ku bantu babbi bano.