Amawulire
Abagaala okwesimbawo balekulire mangu
Minisitule ekola ku nsonga z’abakozi ba gavumenti egamba nti ssiyakuttira Muntu yenna ku liiso ayagala okwegatta ku bannabyabufuzi ate n’alemera mu kifo ky’alimu
Etteeka ku bakozi ba gavumenti likirambika bulungi nti okuleka ba RDC abalondebwa pulezidenti,abasigaddem balina okulekulira emirimu gyaabwe emyezi mukaaga nga tebannewandiisa kwegatta ku byabufuzi
Atwala abakozi ba gavumenti Alex Mitala agamba nti betegereza abantu baabwe okulaba nti tewali amenya mateeka
Mitala wabula agamba nti abo abalekulira balina omukisa oguddamu okulondebwa ssinga baba bazzeemu okusaba emirimu egyo nebagoberera abateeka