Amawulire

Abafirika abasinga obungi batya okwongera kunguzi-Alipoota

Abafirika abasinga obungi batya okwongera kunguzi-Alipoota

Ivan Ssenabulya

December 8th, 2023

No comments

Bya Mike Sebalu, 

Alipoota empya eyafulumiziddwa aba Afro Barometer nga beetegekera okukuza olunaku lwensi yonna olw’okulwanyisa enguzi olubeerawo nga 9 December, eraga nti wakati mu nguzi egenda yeeyongera, abafirika abasinga batya okujogerako.

Lipoota eno yeesigamiziddwa ku kunoonyereza okukolebwa mu mawanga ga Afrika 39 nga ne Uganda mw’otwalidde.

Eyongera okutegeeza nti Abafirika abasinga obungi bagamba nti obuli bw’enguzi munsi zaabwe bweyongedde ate nga zi-gavumenti zabwe ziremereddwa okubulwanyisa.

Ebizuuliddwa era biraga nti mu bitongole bya gavumenti ebikulu, poliisi y’esingamu omuzze gwóbulyake.

Bannansi baloopa nti balina okusasula enguzi okufuna obuyambi bwa poliisi oba okwewala obuzibu ne poliisi, wamu n’okufuna ebiwandiiko bya gavumenti n’obuweereza mu bifo by’ebyobulamu n’amasomero.

Uganda y’emu ku mawanga agasinze okukola obubi bwe kituuka ku kulwanyisa enguzi.

Amawanga amalala agakoze obubi kuliko Gabon, South Africa, Nigeria, Liberia, ate Seychelles, Cape Verde, Tanzania, ne Mauritius ze zikyusizza okukola obulungi.

Ku mutendera gw’obuli bw’enguzi ogweyongedde, Uganda eri mu kifo kya 15 nga Eswatini,yekulembera ne kudako South Africa, Lesotho, Sudan, Ghana, Gambia ne Kenya n’endala