Amawulire

Abafiiriddwa abantu babwe mu kabenje kéryato balajanidde Gavt

Abafiiriddwa abantu babwe mu kabenje kéryato balajanidde Gavt

Ivan Ssenabulya

August 3rd, 2023

No comments

Bya Ivan Walunyolo,

Abooluganda lw’abantu abagudde mu Nyanja Nalubaale olunaku lweggulo, balajanidde gavumenti okuwagira okunoonya emirambo gyabwe kibasobozese okufuna okuziikibwa okusaanira.

Bano bagumbye ku mwalo e Bugonga nga balindiridde amawulire agakwata ku nkomerero y’abaagalwa baabwe okuva mu ttiimu ey’awamu ey’amagye ne poliisi y’oku mazzi wamu n’abavubi abazzeemu okunoonya emirambo gino enkya ya leero.

Kigambibwa nti abantu 25 bebabbidde mu nnyanja Nalubaale, eggulo eryato kwebabadde basaabalira bwelyabbidde.

abantu 9 bokka bebataasiddwa.

Akabenje kano kekamu kwobyo obusinze okuba obubi ku nnyanja Victoria omwaka guno, poliisi egamba nti kavudde kukutikka kabindo n’empewo ey’amaanyi eyabadde ekuunta olunaku lweggulo.

Eryato lino eryabadde mu mbeera embi lyabadde litambuza abasaabaze n’emigugu okuva ku mwalo e Lwanabatya mu Kyamuswa County mu Disitulikiti y’e Kalangala nga lidda katabi mu Wakiso.