Amawulire

Abaddenga akuba obuyinja ku nnyumba yabwewomuwala avunaniddwa

Abaddenga akuba obuyinja ku nnyumba yabwewomuwala avunaniddwa

Ivan Ssenabulya

September 27th, 2021

No comments

Bya Ruth Anderah

Omusazi w’enviiri agambibwa nti abaddeng akanyuga a kayinja ku dirisa ly’omwana omuwala atanetuuka mu budde bwekiro, avunaniddwa nebamusindika ku alimanda mu kkomera e Kitalya.

Omuvunaanwa ye Ssenabulya Godfrey ngasimbiddwa mu maaso g’omulamuzi wa kooti ya Buganda Road, Miriam Okello Ayo amusomedde naye nagwegaana.

Maama w’omwana ono, alumiriza nti omusajja ono abaddenga akwenyakwenya muwala we, namufulumya ennyumba mu budde bwekiro namuteeka mu bikolwa byomukwano.

Oludda oluwaabi lugamba nti omusango yaguzza nga 24 July 2021 e Kyebando Kisalosalo.

Kati bamusindise ku alimanda mu kkomera e Kitalya okutukiraddala nga 29 Okitobba 2021 lwanakomezebwawo omusango guddemu okuwulirwa.