Amawulire

Abadde Nampala wa FDC mu Parliament Ssemuju Ibrahim Nganda asuuliddwa

Abadde Nampala wa FDC mu Parliament Ssemuju Ibrahim Nganda asuuliddwa

Ivan Ssenabulya

August 8th, 2023

No comments

Bya Damalie Mukhaye. Obukulembeze bw’ekibiina ki FDC e Najjanankumbi kikutte ku nkoona abadde nampala w’ekibiina mu Parliament era Omwogezi waakyo Ssemuju Ibrahim Nganda.

Okusinziira ku bbaluwa etereddwako omukono gwa Ssabawandiisi w’ekibiina Nathan Nandala Mafaabi, Nganda asikiziddwa Yufu Nsibambi.

Nandala ategeezezza nga bwakozesezza obuyinza obumuwebwa semateeka w’ekibiina ng’ayita mu kawaayiro namba 6 qakatundu akasooka.

Okusinziira ku bbaluwa, ewereddwako omumyuka w’omukubiriza w’olukiiko olukulu olw’egwanga, President w’ekibiina ki FDC, ne Nampala w’oludda oluwabula gavumenti mu Parliament, ekyuka kyuka zino zitandikiddewo okukola.

Bino webigwiriddewo ng’olunaku lw’eggulo, eyaliko senkaggale wa FDC dr Kiiza Besigye, aliko okutangaaza kweyakoze ku nsimbi ezilowoozebwa nti zeziviiriddeko bino byonna mu kibiina, bweyategezezza nga obukadde 300 Nadala zeyamuteresa, bweyali yazifuna okuva mu makubo agatali malambulukufu.

Besigye yatuuse n’okuwakanya alipoota y’akakiiko ak’anakadde akassibwawo okunoonyereza ku nsimbi zino nategeeza nga ekyetagisa okukolebwa essaawa eno kwekutondawo akakiiko aketengeredde kagira katambuza ensonga z’ekibiina awatali kyekubira nga bwewategekebwawo okulondoola ku nkozesa y’ensimbi zonna ez’ekibiina n’okuzuula amakubo mwezibadde ziva okuva emabega.