Amawulire

Abadde Minisita omubeezi ow’abakozi omukuumi we amukubye amasasi agamusse

Abadde Minisita omubeezi ow’abakozi omukuumi we amukubye amasasi agamusse

Ivan Ssenabulya

May 2nd, 2023

No comments

Abadde minisita omubeezi ow’ensonga z’abakozi Col (Rtd) Charles Okello Engola akubiddwa amasasi agamutiddewo.

Ettemu lino libaddewo ku saawa nga 2 ez’okumakya mu maka ge agasangibwa e Kyanja  bw’abadde ayingira motoka ye ey’omulimu okugenda okukola.

Okusiziira ku Poliisi, omukuumi we ategerekese nga Private Wilson Sabiiti yamukubye amasasi agamutiddewo mu lujja lw’amaka ge agasangibwa ku luguudo ring era agamukubye amuli kumpi.

Ono oluvanyuma adduse okugenda mu kabuga k’e Kyanja gyayingiridde saloon mweyekubidde naye amasasi agamusse, okusizniira ku ayogerera Poliisi Fred Enanga.

N’omukuumi wa Minisita omulala ategerekese nga Ronald Otim naye asumattuse n’ebisago era naddusibwa mu dwaliro e Mulago okufuna obujanjabi.

Omumyuka w’omuduumizi wa Poliisi , Maj Gen Geoffrey Tumusiime Katsigazi  n’akulira okunoonyereza ku buzzi bw’emisango , Maj Tom Magambo bebamu ku bakulira eby’okwerinda abasoose okutuuka ku kifo awagudde enjega mu maka ga Minisita ng’eno abasirikale abakola ku gw’okunoonyereza bwebeyongera okuzingako ekifo okukunganya obujulizi obunabayambako mu kunoonyereza.

Enanga ategeezezza ng’okunoonyereza bwekutandise nga baliko n’abakugu abalal bebongedde okusindika ku kifo okwongera okuzuula kiki ekyandiba nga kyekiviiriddeko ettemu lino.

Mw Enanga wabula abadde tannamanya oba nga waliwo abantu abalala abalumiziddwa mu ttemu lino nga kyebaliko kwekuzuula oba nga waliwo abakuumi abalala abalumiziddwa.