Amawulire

Abadde ava okulya ewa amaama we, bamutemudde

Abadde ava okulya ewa amaama we, bamutemudde

Ivan Ssenabulya

February 13th, 2022

No comments

Bya Barbra Nalweyiso

Poliisi e Mityana etandise okunonyereza ku butemu obwakoleddwa ku musajja owemyaka 25, Muwonge William bwebafumise ebiso ebyamausse.

Omugenzi abadde mutembeeyi wangatto, omutuuze nga mutuuze ku kyalo Kansuleti “A” mu divizoni ye Busimbi e Mityana.

Okusinziira ku mwogezi wa poliisi mu Wamala Rachel Kawala omugenzi yabadde ava wa nnyina, Bukirwa Florence okulya ekyeggulo ngaddayo gyasula.

Agambye nti poliisi yayitiddwa nebakunganya obujulizi bwebetaaga, okuva mu kifo awabadde obutemu buno, omulambo negutwalibwa mu gwanika okwongera okwekebejebwa.

Agambye nti okunonyereza kukyagenda mu maaso.