Amawulire
Abadde atunda enyama yembwa bamukutte
Bya Joel Kaguta
Poliisi mu district ye Kasese eriko omusajja gwekutte, nga kigambibwa nti abaddenga awamba embwa ezitayaaya nazitta enyama nagiguza abantu.
Omukwate ye Vincent Kisembo owemyaka 48 mutuuze ku kyalo Kyanduli II mu town council ye Mpondwe-Lhubiriha mu district ye Kasese.
Omudumizi wa poliisi ye Bwera Sadat Sabila agambye nti batemezeddwako, ngomusajja ono bwabaddenga ayokya enyama yembwa najiguza abantu mu katale mu gombolola ye Isango.
kigambibwa nti abaddenga atabika enyama yenta mu yembwa okusobola okubuzabuza.