Amawulire

Abadde ateberezebwa okuwamba omwana attidwa.

Ivan Ssenabulya

June 4th, 2018

No comments

Bya Abubaker Kirunda.

Abatuuze  ku kyalo Iziru mu gombolola ye  Buyengo  wano mu jinja baliko  omusajja gwebakubye embooko okutuuka okufa ,nga ono bamutebereza kuwamba mwana.

Omugenzi ategerekese nga Sulaiman Bazibu nga ono abatuuze bamugoberedde oluvanyuma lw’okumulaba nga aliko akaana ak’emyaka 10 kabeperereza okubaako gyakatwala.

Kati kino kitanudde abatuuze okumusimbako, okukakana nga bamukubye emiggo  egimusse.

Twogedeko n’aduumira police yeno Joseph Joka nagamba nti bagezezaako okugobaganya abaakoze kino, wabula bagenze okutuuka nga attidwa.