Amawulire

Abadde asoobya ku bakyala akwatidwa.

Ivan Ssenabulya

February 13th, 2018

No comments

Bya Sdat Mbogo.

Police e Kamengo mu district ey’e Mpigi  ekutte omuvubuka ow’emyaka 19 nga ono kigambibwa nti abadde yaakasobya ku bawala abato bataano.

Aduumira police y’e Kamengo, Yvonne Kyomuhendo agambye nti omuvubuka ono yakwatiddwa okuva ku kyalo Kampiringisa okumpi n’ekifo awakuumibwa abaana ababeera bazizza emisango ekya Kampiringisa Children Rehabilitation Center.

Akulira ekifo kino, Irene Nsangi atutegeezezza nti ono  yali yasibwako mu kifo kino mu mwaka gwa 2016 kyoka n’asiibulwa wabula olwokuba ekifo kyamunyumira, yasalawo okudda mu byalo ebiriranyeewo.

Abatuuze bagamba omulenzi ono abadde ateega abaana abawala mu bibira ne ku nzizi olwo n’abasobyako okutuusa lwebeekubidde enduulu eri ab’obuyinza nebamukwata.