Amawulire

Abadde akulira UNBS agobeddwa

Abadde akulira UNBS agobeddwa

Ivan Ssenabulya

August 6th, 2023

No comments

Bya Mike Sebalu

Abadde akulira ekitongole ekivunanyizibwa ku mutindo gw’ebintu mu gwanga KI Uganda National Bureau of Standards (UNBS) David Livingstone Ebiru agobeddwa ku bukulu bw’ekitongole ekyo.

Mu baluwa etereddwako ennaku z’omweezi 4/08 omukono gwa Minister w’eby’obusuubuzi Francis Mwebesa, ono akkiriziganyizza n’okusalawo kw’olukiiko lwa National Standards Council, David Ebiru agobwe olw’obuvuyo obusukkiridde mu buweereza bwe eri ekibiina.

Olukiiko lwatula nga 1/08, lwakizuula nti kituufu Mw Ebiri yaakirizza oluvanyuma lw’okukuba ebilayiro nti yagulirira abamu kubatuula kakiiko okusobola kusigaza ekifo kye nga senkulu wa UNBS.

Ebbaluwa egoba Mw Ebiru ewereddwako  Ssabawolereza wa Gavumenti, Kaliiso liiso wa Gavumenti, Sentebe w’akakiiko ka Parliament akalondoola enkozesa y’ensimbi y’omuwi w’omusolo, Omuwandiisi w’enkyama eri omukulembeze w’eggwanga, omuwandiisi ow’enkalakkalira wa Ministry y’eby’obusuubuzi wamu ne sentebe w’olukiiko lwa National Standards Bureau of Standards.

Wabula Mw Ebiru bwetumutuukiridde atubuulidde nti wadde ali mu luwummula olw’obuwaze, ebbaluwa emugoba ku mulimu agilabidde ku mikutu gimugatta bantu.