Amawulire

Abadde akabasanya abaana

Ali Mivule

September 9th, 2014

No comments

Children 4

Mu district  eye Gulu Omukazi ow’emyaka 37 akwatiddwa lwakukabasanya obulenzi 2.

Betty Adong y’akwatiddwa lwakukola bikolwa byansonyi ku balenzi bano okuli ow’emyaka 14 ne 15 ku kyaalo Ocim mu gombolola ye Lalogi.

Agavaayo galaga nti Nakyaala ono yabadde ku bugenyi mu maka g’abazadde b’abaana bano,wabula bwebbaatusse mukiro, naayita obwana buno nabuyigiriza ebyensonyi.

Omwogezi wa poliisi mu bitundu bya Aswa Patrick Okema akakasizza nga abaana bano bwebaakebereddwa nekizuulibwa nga bwebaasobezeddwako.

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *