Amawulire

Abadde agenze okulaba TV bamutidde ku mulirwano

Abadde agenze okulaba TV bamutidde ku mulirwano

Ivan Ssenabulya

March 7th, 2021

No comments

Bya Barbra Nalweyiso

Poliisi Mityana etandise okunonyereza kubwa kkondo nobutemu obukoleddwa ku musajja Stanley Kyerani Jurnior abadde amanyiddwa nga Maria Rose, omutuuze we Busunju B, mu tawuni kanso ye Busunju e Mityana.

Obutemu buno bwabadde mu bude obwkiro.

Kigambibwa nti abasajja babiri mu ngoye ezabulijjo, nga bambadde mask babayingiridde mu nyumba, babadde ne mmundu kika kya Ak-47.

Omugenzi yabadde akyalidde mukwano gwe, okulaba TV, babatadde ku mudmu gwe mmundu nebabba laptop bag nensimbi emitwalo 3 nekitundu ne ssimu eyomungalo.

Omwogezi wa poliisi mu kitundu kya Wamala, Rachel Kawala akaksizza ettemu lino.