Amawulire

Abadde abba endibota avunaniddwa

Abadde abba endibota avunaniddwa

Ivan Ssenabulya

September 20th, 2021

No comments

Bya Ruth Anderah

Omusubuzi ow’emyaka 40 agambibwa nti abadde yefudde mukoko okubba endibota z’engoye mu Katale ka Owino avunaniddwa.

Musaazi Javiira, asomeddwa emisango gy’obubbi mu kkooti ya LDC era nagikiriza, wabula nasaba ekisonyiwo.

Omulamuzi amusindise mu kkomera e Luzira okutukira ddala nga 27 Sebutemba omwaka guno, lwanakomezebwawo aweebwe ekibonerezo.

Kigambibwa nti omusango yaguzza nga 12 March 2021 mu Musaazi Masitoowa, mu katale ka Owino bweyabba endibota z’enjoye 26 okuva ku Tumuhimbise Annet era zaali zibalirirwamu obukadde 18.